Waliwo ebintu bisatu Katonda byatuwa. Ebintu ebyo bikulu nnyo mu kuyamba Omuntu okutuukiriza obusobozi obuli muye. Ebintu ebyo byebino; Amagezi, Okumanya, n’ Okutegeera (Kuva 31:3, 35:31).
Amagezi kye ki?
Okusinziira ku byawandiikibwa, amagezi bwebulungi bwekikolwa oba okusalawo mu nkwanaganya y’enkozesa y’obumanyirivu, okumanya, n’okusalawo obulungi (1Basekabaka 3:16-28).
Amagezi ga vaawa? Yobu yabuuza (Yobu 28:20).
Ebyawandiikibwa bitutegeeza nti; mukutya Mukama, amagezi mwegasookera (Engero 9:10), (Zabuli 111:10).
Bwetweyongera okunonyereza mu byawandiikibwa, Yesu ye magezi ga Katonda (1Bakolinso 1:24, 30).
Okumanya kye ki?
Okumanya kiyinza okunyonyolwa nga ekituufu, ekikakasiddwa, mu ntegeera eyengeri emu, era nga tekikubaganyizibwako birowoozo. Ekyokulabirako; gamba nga okuba nti Yesu Mwana wa Katonda, kale oba nga okugamba nti Katonda ye yatonda byonna, era byonna yabifuga.
Okumanya kikulu nnyo era ebyawandiikibwa bitutegeeza nti Omuntu bwataba na kumanya, kimuleetera okubula (Koseya 4:6).
Obutaba na Magezi, Okumanya, n’ Okutegeera bye bituleetera okulemererwa okujayo obusobozi obutulimu (buli Muntu alina obusobozi mu ye Katonda bweyamutekamu). Kale ebintu bino ebisatu bikulu mu kuyamba Omuntu yenna okujayo obusobozi obumulimu.
Ebyawandiikibwa bitutegeeza nti amagezi gatuukirira na kutegeera (Engero 4:7). Kale kwekugamba nti; ebintu bino ebisatu (Amagezi, Okumanya, n’ Okutegeera) bitambulira wamu. Era no ne kabaka Suleiman bweyasaba Mukama, teyamusaba magezi goka, wabula yamusaba n’okutegeera (1Basekabaka 3:9, 11, 12, 4:29).
Naye mu kino, twaagala okunyonyoka mu ngeri eyenjawulo ekigambo kino eky’Okutegeera na biki ebikigenderako.
Okutegeera kuvaawa? Yobu yabuuza (Yobu 28:20)
Okutegeera kujja na kufumitiriza wamu n’okubikulirwa. Ate Mukama yatulungamya eri okubikulirwa. Katonda yalungamya Yokaana agende ku kizinga kye Patimo olwo no alyoke amubikulire ebintu ebitayinza kulabibwa na maaso ga mubiri. Olwo no Mukama namulagira awandiike ekitabo kya Kubikulirwa (Kubikulirwa 1:10).
Abantu bangi tetulina kutegeera, Kyoka ng’ate ekisinga okuba ekyakabi, tetukiriza kulungamizibwa. Singa Yokaana teyakiriza Katonda kumulungamya kugenda ku kizinga Patimo, kakaano singa si ye muwandiisi we kitabo kya Kubikuklirwa.
Era obutategeera bwaffe bumanyiddwa ne Mukama waffe Yesu Kristo (Mattayo 22:29). Olwokuba nti twagala nnyo okusigala nga tetumanyi, tulowooza nga singa tukiriza nga tetutegeera, nti olwo tuba tuwanguddwa. Era kino kitukuumira mu butategeera obwoluberera. No lwensonga eyo, Okutegeera tekujja nakola bukozi kintu, wabula nga tukirizza Mukama natulungamya mu kubo ery’okutegeera.
Ebyawandiikibwa bitukakasa nti Okutegeera kikulu nnyo nti era Omuntu yenna ateekwa Okutegeera. Kwekugamba nti mu buli kintu kyetukola, tutekeedwa okukakasa nga tukitegedde.
Bwokola ekintu kyona kyototegeera, oba kyotayagala kutegeera, ogenda kulemererwa. Ate no era, bwoba ng'omalirizza okukitegeera, oteekwa okumanyisa abalala, oba banno ekyo ggwe kyotegedde nabo basobole okukitegeera obulungi.
Nekemiya yakakasiza ddala nti buli Muntu gweyali akola naye omulimu gwa Mukama yali ategeera bulungi kyebaali bakola (Nekemiya 10:28). Kiba kibi nnyo era kyandireeta na kabenje singa Omuntu akola ekintu abalala oba banne kyebatategeera. Ggwe olaba ne Mukama waffe Yesu Kristo bweyagya bwati, kyeyasokerako, kwekwenyonyolako kiki kyeyali, na ki ekyaali kimuleese ( Luka 4:18).
Katonda omuyinza webintu byonna (era nga Ye yeka y'Entandikwa era Enkomerero yabyonna), atuwa Okutegeera ku byaba agenda okukola. Yensonga lwaki atuweereza banabi okutubuulira ebijja olwo no tulyoke tubikwanaganye bulungi.
Ebyawandiikibwa bino wamanga byongera okutukakasa nti Okutegeera kintu kyamakulu nnyo mu bulamu bwomuntu yenna. Kubanga Okutegeera kw’omuntu kulabibwa ku maanyi gakozesa oba gateeka mw’ekyo kyakola.
Luka 24:44-48 - “N'abagamba nti Bino bye bigambo byange bye nnababuulira, nga nkyali nammwe, bwe kigwanira byonna okutuukirizibwa, ebyawandiikirwa nze mu mateeka ga Musa, ne mu bannabbi, ne mu zabbuli.
N'alyoka abikkula amagezi gaabwe, bategeere ebyawandiikibwa;
n'abagamba nti Bwe kityo bwe kyawandiikibwa Kristo okubonyaabonyezebwa n'okuzuukira mu bafu ku lunaku olw'okusatu;
era amawanga gonna okubuulirwanga okwenenya n'okuggibwako ebibi mu linnya lye, okusooketa ku Yerusaalemi.
Mmwe bajulirwa b'ebyo”.
2Petero 3:15-16 – “Era mulowoozenga ng'okugumiikiriza kwa Mukama waffe bwe bulokozi, era nga muganda waffe omwagalwa Pawulo mu magezi ge yaweebwa bwe yabawandiikira;
16 era nga mu bbaluwa ze zonna, ng'ayogera ku ebyo mu zo; omuli ebimu ebizibu okutegeera, abatamanyi n'abatali banywevu bye banyoola, era nga n'ebyawandiikibwa ebirala, olw'okuzikirira kwabwe bo”.
Kuva 36:1 - Ne Bezaaleeri ne Okoliyaabu banaakolanga emirimu, na buli muntu alina omutima ogw'amagezi, Mukama gw'ateeseemu amagezi n'okutegeera amanye okukola omulimu gwonna ogw'okuweereza okw'omu watukuvu, nga byonna Mukama bye yalagira.
Ekyamateeka olw’okubiri 1:13 - Mwetwalire abasajja ab'amagezi era abategeevu era ab'amaanyi, ng'ebika byammwe bwe biri, nange ndibafuula abakulu bammwe.
Ekyamateeka olw’okubiri 4:6 - Kale mubyekuumenga mubikolenga; kubanga ago ge magezi gammwe n'okutegeera kwammwe mu maaso g'amawanga aganaawuliranga amateeka ago gonna ne googera nti Mazima eggwanga lino ekkulu be bantu ab'amagezi era abategeera.
1Samwiri 25:3 - Era erinnya ly'omusajja Nabali; ne mukazi we erinnya lye Abbigayiri: n'omukazi yali mutegeevu n'amaaso ge nga malungi: naye omusajja yali wa kkabyo era mubi mu bikolwa bye; era yali wa nnyumba ya Kalebu.
(1Bassekabaka 3:9, 3:11, 3:12, 4:29, 7:14)
(1Ebyomumirembe 12:32, 22:12)
(2Ebyomumirembe 2:12, 2:13, 26:5)
(Ezera 8:16, 8:18)
(Nekemiya 8:2)
(Yobu 12:3, 12:12, 12:13, 12:20, 17:4, 20:3, 26:12, 28:12)
(Engero 2:2-5, 3:13-18, 18:2, 14:29, 17:27, 20:5)
Olaba ebintu bingi, oyogera ebigambo bingi, okkola ebintu bingi, osoma bingi, naye ekibuuzo kiri nti; obitegeera? Kirungi nnyo okuba n’Okumanya. Naye ate kitegeeza kirala okuba nga otegeera ebyo byomanyi. Kubanga okumanya kwoka tekimala.
Omulaawe Omw’Esiyopi (Omukuusi) yali asoma ebyawandiikibwa, era kirabikira ddala nga yali alina ennyonta eyokubisoma, Kyoka byeyali asoma yali tabitegeera (Ebikolwa by’Abatume 8:30). Ekirungi kiri nti teyawakanya kulungamizibwa. Era Firipo bweyamwegatako, Omusajja ono ( Omw’Esiyopi) yamusanyikira. Kwekugamba nti Omulaawe ono Omw’Esiyopi yasanyukira Firipo olw’okujja okumuyambako okusobola Okutegeera ebyawandiikibwa.
Mukama waffe Yesu yayambala omubiri alyoke atulungamye bulungi mu kubo lya Mukama. Kubanga Mukama yattuwa amateeka agokugoberera naye gaatulemerera okukuuma. Kyoka Yesu bweyayambala omubiri, nalabikira muffe, yatulekerawo ekyokulabirako ekirungi kubanga yaberera ddala muffe.
Omuyambi, Omwoyo Omutukuvu, ekimu ku bintu byalina okkola, kwekujulira erinnya lya Yesu (Yokaana 15:26). No'lwekyo, Omwoyo Omutukuvu ne Yesu bakolera wamu okutumanyisa Katonda. Kubanga Omwoyo Omutukuvu atulumiriza kwebyo Mukama waffe Yesu byeyatulagira okkola. Abantu bonna buli lwe bakolera awamu, bakola era ne bamaliriza bingi.
Mu ngeri enno, bwetutegeera nga Yesu yani, ekyo kituwa okutegeera n'enjiri Ye. Abantu bangi twagala nnyo Okutegeera Yesu ng’Omuntu, naye ate netutayayaana kutegeera Njiri ye (bano okusinga baba Balokole).
Naye Mukama waffe Yesu atulabula nti ekigambo kye era nakyo kyamuwendo nnyo era nga naye bwali owomuwendo omungi. Ekyo no kyekitufuula Abantu abasanyusa Katonda (Mattayo 7:21-23, 24), (Luka 6:47:49), (Abaebulaniya 4:2). Kubanga bangi tusaba mu linnya lya Yesu (era nga ddala kikola okusaba mu linnya lya Yesu), naye tetuyaayanira nnyo ddala okwekuuma ebyo byayigiriza. Era kino kyekimu kwebyo ebitulemesa okutuukirira mu Katonda.
Yesu atukakasa ng’atugamba nti; mwe muli mikwano gyange bwemukola ebyo byembalagira (Yokaana 15:14-15). Era Yesu yabuuza abo abaali bamugoberera lwaki baali bamuyita Mukama waffe, Mukama waffe, naye nga tebakola ebyo byayagala (Luka 6:46).
Ekika ekirala ekyabantu kyekyaabo abaagala ennyo Enjigiriza ya Yesu naye ate nebategomba kutegeera Yesu yani (bano ebiseera ebisinga tebaba Balokole). Naye ng’ate Mukama waffe Yesu Kristo atuyigiriza nti kyamuwendo mungi nnyo okumutegeera nga Ye. Kubanga Yesu kyekinyusi ky’Enjiri (Yokaana 6:33-35, 41-42, 48-58, 60-61, 63-66).
Olumu Firipo y'agamba Yesu nti; "...tulage Kitafe n'ekyo kinaatumala". Yesu yamuddamu nti; ddala, ddala mbagamba nti; alaba kunze aba alabye Kitange, kubanga nze ndi mu Kitange, era ne Kitange ali munze (Yokaana 14:8-11). Na bwekityo, kyamuwendo mungi Okutegeera Yesu yani. Era nga bwekiri ekyomuwendo omungi Okutegeera ebyo byayigiriza.
Nolw’ekyo, Yesu ng’Omuntu wamu nebyo byayigiriza, byonna byamuwendo mungi nnyo okubitegeera. Kwekugamba nti Omubaka wamuwendo nnyo era nga n’Obubaka bwe bwebuli obwomuwendo omungi. Yesu ne Njiri bali kimu.
Yesu yaatulungamya mu kubo etuufu, era ku Ye (Yesu), Okukiriza kwafe kwekuzimbiddwa (Abeabulaniya 12:2). Kubanga bwekityo bwekisinga okuba ekirungi era n’okutegeerebwa obulungi. Era Yesu ly’ejinja eryokunsonda (Zabuli 118:22), (Mattayo 21:42).
Kale mukino, engeri eno wansi etuyambako mukutulungamya tutya bwetulina okutegeeramu Enjiri ya Mukama waffe Yesu Kristo.
- Okutegeera Omuntu Yesu
- Okutegeera Omuntu Yesu ng’omusinji gw’Ejiri
- Okunywegera Yesu wamu n’Okuyigiriza kwe
- Okwenenya
- Okubala ebibala ebyokwenenya
Okutegeera Omuntu Yesu
Era nga bwetwakirabye mukusooka, Enjiri ya Yesu era enyonyola Ye ng’Omuntu. Kubanga Yesu ge makulu gennyini ag’Ejiri. Era na buli kyona ekiriwo oba ekitaliiwo, kiri bwekityo kulw’Omwaana (Yokaana 1:1-2). Era awatali Yesu, tekisobokera ddala ddala nate Okutegeera Enjiri Ye. So no ng’ate era; Omuntu tayinza kutegeera Katonda bwaba tategedde Yesu.
Kati olwo Yesu yaani?
Lumu Yesu yagezaako okubikulira abayigirizwa be kiki ddala kyeyali oba kyaali. Naye ate okusinga ennyo, ayagala nnyo abeere nga atubikulirwa bubikulirwa (oba buli Muntu okutegeera Yesu nga ye) okusinga ate Ye okubeera nga yeraga.
Era lumu Yesu yabuuza abayigirizwa be kiki kyebaali bamutegedeko oba bamumanyiiko. Petero yadamu namugamba nti; “…Ye gwe Kristo Omwana wa Katonda abeera omulamu” (Mattayo 14:16), (Makko 8:29-30). Yesu yamudamu nga amusiima olw’okubikulirwa okwo okutenkanika. Kubanga ku Yesu Enjiri kwesimbidde ddala. Era ku Yesu Omwana wa Katonda, Ekanisa kwesimbidde era kwezimbiddwa ddala nenywezebwa.
Era ne ku kijjulo ekyasembayo, Yesu bweyagabana na bayigirizwa be omugaati n’envinyo, yabagamba nti; mulye kuba guno gwemubiri gwange. Era na kwata ne kikompe nabawa nabagmba nti; munywe kuba guno gwemusaayi gwange ogw’endagaano empya oguyiriddwa olw’okujawo ebibi (Mattayo 26:26-28).
Bwetweyongera okunonyereza mu byawandiikibwa, Katonda Kitafe (mu ddoboozi lye Yennyini) atukakasa nga ddala Omuntu Yesu Kristo Mwana We (Mattayo 3:17, 12:18, 17:5), (Mark 1:11, 9:7).
Okutegeera Omuntu Yesu ng’omusinji gw’Enjiri
Yesu Kristo nga bwaali, era nokumutegeera nga bwaali, yayibwaako amafuta Katonda Kitafe olw’okujako oba okunazaako ensi eno ebibi okuyita mu sadaaka Ye (Yesu) etenkanika. Kubanga Yesu lye linnya lye, naye ate okumumanya nga Kristo, olwo oba otegedde obwa Katonda bwe.
Yesu nga Kristo, yatubikulira kiki ekyamuleeta; era ekyo; nga kwekusumulula ensi enno mu buwambe (Luka 4:18), (Isaaya 61:1). Era mu kino, Yesu atusobozesa Okutegeera ekigendererwa ky’Enjiri Ye kye ki.
Yesu yajja alyoke atuterewo omusinji ogw’okukiriza (Yokaana 8:24, 6:29). Kubanga okuyita mu Yesu mwoka, tusobola okutuukirira Katonda Kitafe (Yokaana 16:6, 10:9). Kuba no era awatali Yesu, tewayinza kubaawo alokoka (Yokaana 15:1-8).
Omuntu eyasooka Adam yalemererwa okutambulira mu busobozi Katonda bweyali amuwadde. Naye Omuntu Yesu Ye yasobolera ddala okutambulira mu busobozi obwaali bumulungidwamu Katonda Kitafe. Era mw’ekyo, Omuntu Yesu yasobolera ddala okutuukiriza omulimu gw’okulokola ensi eno. No'lwekyo, Omuntu tayinza kuba ng’ali munsobi (newankubadde akatono ennyo) bwagamba oba bwakiriza nti Omuntu Yesu, Ye Yennyini, gwe musinji gw’Enjiri (1Bakolinso 15:47), (Baruumi 5:18). Kubanga tubalibwa nga tuli batuukirivu ku bwa Kristo. Era obutuukirivu bwa Kristo bwebutufuula abasaanira mu maaso ga Katonda.
Okunywegera Omuntu Yesu Kristo wamu n’Okuyigiriza kwe.
Bw’omala Okutegeera Yesu, ekirina okuddako kwekunywegera Omuntu Yesu Kristo wamu n’ebyo byayigiriza. Kubanga Yesu nga bwali (Mwana wa Katonda ate era Kristo), aleese ekitangala eri ensi. Kino yakikola olw’obwa Katonda bwe wamu n’ebyo byayigiriza.
Olw’ekyo, ku bwa Yesu, Waliwo esuubi eryobulamu oluvanyuma lwokufa kuno okw’omubiri (Yokaana 11:25, 5:24). Kyoka era, Omuntu bwagaana Okukiriza nga Yesu Ye wuuyo, olwo aba amaze okwesalira omusango ogwoluberera (Yokaana 3:19).
Era Omuntu yena tateekeddwa kugoberera bugoberezi atyo Yesu. Kwekugmba nti ensonga si yakugoberera bugoberezi Yesu. Okulondawo okugoberera Yesu si kya kweyagalira bweyagalizi. Yesu yagezesebwa era nakakasibwa Katonda Kitafe. Yesu ddala asaanide kubanga Ye yekka yeyatambulira mu bulamu buno obwensi ey'ekibi naye Ye (Yesu) natagwa mu kibi kyona, ekyengeri yonna (Yokaana 8:46).
Olw’ekyo, kisaanide ddala Omuntu okubeera mu mukwano ne Yesu. Kubanga Yesu yeka yatulaze omukwano ogutalina kipimo kyona.
Kubanga obutafanana na balala, Yesu tamenya mutima gwa Muntu yenna. Era bwowa Yesu obulamu bwo, ekyo kyekikuwa obukakafu. Kyokka bwoba nga obulamu bwo wabumuwa dda, ekyo kyekya magezi kyewakasinga okukola mu bulamu bwo.
Okwenenya
Buli muntu ayambadde omubiri mwonoonyi. Era Tewali ngeri yonna Omuntu yenna gyayinza okwewolerezaamu nakirizisa Katonda nti talina kibi. Omuntu ali omu yeka mu bulamu bwensi eno ataayononako, Omuntu Yesu. Abasigaddewo fenna tuli bonoonyi. Era tekikola makulu nakamu Omuntu yenna bwagaana Okwenenya nobutakiriza nti mwonoonyi (1Yokaana 1:9-10). Kibi nnyo obutenenya era kiswaaza.
Olwokuba nga Adam yayonoona, ate nga fenna abaana ba bantu tuli nsigo ye, buli katundu kona akali mu oba ku Muntu kajudde ekibi (Baruumi 3:23). Era Omuntu yenna bwatayitibwa Muntu, erinnya lye eddala lyandibadde “Mwonoonyi”.
Okulokoka tekiva mu kukuuma mpisa nungi. Era nobutaba mulokole, tekiva mu kuba ng’Omuntu takuumye mpisa ezo. Kubanga empisa ezo si zezituleetera okukirizibwa oba okugaanibwa Katonda. Katonda atugaana oba atukiriza lwa kugaana oba kukiriza Yesu. Kwekugamba nti Okukiriza Yesu kye kyoka ekitusiimisa mu maaso ga Katonda.
Obulokozi tebunyonyolwa oba kutegeerebwa nebyo byetukola. Nedda. Obulokozi kyekyo Mukama kyatufuula. Era Yesu kyatufuula okubeera, kibeera mu mutima, so si mw’ebyo byetulaba oba byetukola.
Kwekugamba nti okukola, oba obutakola ebintu ebimu oba okweyisa oba obuteyisa mungeri emu oba endala, tekisobola kuleetera Muntu yenna bulokozi. Era bingi kwebyo byetukola, tubikola olwo no Abantu batusiime oba batuwaane (Bakolosaayi 2:20-23). So ng’ate Katonda ayagala ekyo omutima gwo kyeguli so si ebyo byokola abantu bakulabe.
No’lwekyo, okuwonyezebwa kw’Omuntu okw’Omwoyo kuva mu mutima gwe olwo no nekusasanira Omuntu yenna, so tekuva (okuwonyezebwa) mw’ebyo byakola nekuyingira mu mutima ggwe. Nedda, tekisoboka wade nakatono ddala.
Era Ebikolwa by’Omuntu tebisobola nakatono ddala okukyuusa Omutima ggwe. Wabula Omutima gw’Omuntu kyeguli, ekyo no kyekifuga Ebikolwa by’Omuntu oyo. Mu kino, tusobolera ddala okumatiza bantu banafe nga bwetuli abalungi olwebikolwa byaffe aby’omubiri, naye si bwekityo eri Katonda (kuba Ye (Katonda) amanyi byonna era alaba byonna).
Kale no sanyukira nnyo ekyo Omutima gwo kyeguli, so si ebyo byokola oba byolina.
Nate era, tuyinza okugamba nti Obulokozi bulamu. Kwekugamba nti Obulokozi kwekuzaawo enkolagana wakati w’Omuntu ne Katonda. Nate era kwekugamba nti Obulokozi ye Muntu okubala embala ya Katonda. Embala ya Katonda ye eno; obutuukirivu, okwagala, esanyu, Emirembe, obugumiikiriza, Ekisa, obulungi, obwesigwa, obukakamu, okwegendereza (Bagalatiya 5:22), (Baruumi 14:7).
Abakristaayo bangi tulemereddwa okukula mu Katonda lwa kuba nga tulowooza nti ffe tuteekwa okwerwanira, mbu olwo no Bantu banafe balyoke batusembe olwebikolwa byaffe. So ng’ate Katonda kyatwaagaza, si kulabibwa eri Bantu banafe nga bwetuli abalungi, wabula okuwaayo obulamu bwaffe eri Kristo Yesu (nga Ye yeka yakyuusa era nafuula) Abantu okuba abalungi.
Era Omuntu yenna tateekedwa kulokoka lwa kutya (okutya si kya bwa Katonda) oba entiisa y’omubi. Okulokoka kw’Omuntu yenna kulina kuva mu kulumirizibwa ekibi wamu n’okwagala Katonda. Kubanga Obulokozi kirabo ekiva eri Katonda. Ne mumbeera zafe zino ezabulijo, teri Muntu aweebwa oba afuna ekirabo olw’okutya, oba olw'okuba nti atidde nnyo. Nedda. Ekirabo kiweebwa era ne kifunibwa mu sanyu. Naye olwaalero, Waliwo Abantu bangi abaalokoka, naye nga tebalina sanyu lyabulokozi. Ekyo si bwekirina okubeera bwekityo. Kubanga Obulokozi kirabo ekiva eri Katonda Kitafe okuyita mu Mwana we Kristo Yesu.
Mukama wafe Yesu bulijo ayagala nnyo Omuntu yenna eyenenya. Nti era, Omuntu yenna bwaba nga wakufuna okusaasirwa (okwengeri yona) okuva eri Katonda, ateekwa buteekwa Okwenenya (Luka 13:1-5, 18:14). Era Omuntu yenna bwabaako n’engeri yonna gyanaakolaganamu ne Katonda, Omuntu oyo eteekwa buteekwa okutandika n'okwenenya.
Kubanga Okwenenya kutufuula bagya mu Katonda. Era kutuleetera okufuna obulamu obugya mu Katonda. Era bwetuba mu Yesu, tuba tuyingidde mu nsi endala. Kubanga Tewali mwonoonyi yenna atayinza kusonyiyibwa bwaba nga yenenyeza. Kimu kyoka Omuntu yenna kyalina okukola, kwe kwenenya ebibi bye.
Yesu yafirira buli kyona ekiyitibwa ekibi. Era kakaano atude ku mukono gwa Katonda Kitafe ogwa ddyo ali mu kutwegayirira (Baruumi 8:33-34).
Okubala ekibala eky’okwenenya
Okwenenya kyekikatiriza obulamu obugya Omuntu yenna bwaba afunye nga’maliriza okuyingira mu oba Okukiriza Kristo Yesu. Era kino kitegeeza okubeera ng’Omuntu agoberera obulamu obw’obutuukirivu.
Era Omuntu yenna bwaba nga yenenyeza, ateekwa buteekwa (olw’ekisa kya Katonda) okutambulira mu bulamu obwo (obw’okwenenya). Kwekugamba nti Omuntu oyo alina okuba ng’ayayaana nnyo okwewala okudayo mu bulamu obw’ekibi. Omuntu yenna nga yenenyeza, ateekwa okutambulira mu bulamu obuweesa Katonda ekitiibwa.
Omuntu ng’amaliriza Okwenenya, ateekwa okuba nga buli kiseera ayayaana okuba n’Omutima ogulubirira okufanana ng’Omutima gwa Katonda.
Era wateekwa okubaawo obujulirwa obulaga ng’Omuntu bwaba asembeza Yesu, ddala, ddala awulira munda mu ye nga Mukristaayo era ng’ekyo kirabikira ddala ne muneeyisa ye.
Kubanga oteekwa okukimanya nti engeri gyeweyisaamu ng’omaliriza Okulokoka, ekola kinene nnyo okukyuusa oba obutakyuusa Omuntu omulala.
Era bwetulondawo okugendera mw’ekyo Mukama kyaba atulungamizaamu, ekyo kitufuula abagezi ddala. Era bwetukola bwetutyo, tuba tulonzeewo ekubo ekakafu ery’obulamu. Ekubo eryo Ye Yesu Kristo (Luka 18:6-8), (Yokaana 8:11), (Mattayo 3:8-10). Era mu kino, wabaawo okutandika okubala ekibala eky’Omwoyo.
Bwetujja eri Yesu Kristo, olw’obutuukirivu bwe, atuzaayo mu kifaananyi kya Katonda mwe twaali twatondebwa mu kusooka. Katonda atwetaaga atuzeeyo mu kifaananyi kye mweyatutondera okusooka.
Mu kumaliriza byonna, bwe tuba nga tuyayaana Okutegeera Omuntu Kristo Yesu, nabwekityo tuteekedwa okuba nga tuyayaana Okutegeera Enjiri ye. Era nate bwetuyayaana Okutegeera Enjiri ya Yesu Kristo, tuteekedwa ne’ra okuyayaana Okutegeera Omuntu Yesu Kristo.
0 comments :
Post a Comment